From Wikipedia, the free encyclopedia
Kabaka kye kitiibwa ekiyitibwa omukulembeze ow'okuntikko mu Bwakabaka bwa Buganda. [1]142–143 Okusinziira ku nnono za Buganda, Obwakabaka bukulemberwa Bakabaka babiri (2), omu nga wa byamwoyo (Enzikiriza) n'ow'ebyensi.
Oweebyomwoyo akiikirirwa eŋŋoma z'Obwakabaka eziyitibwa Mujaguzo, ng'abakulembeze ab'ensikirano abalala, alina olubiri, abakungu b'Obwakabaka, abaweereza n'abakuumi b'olubiri (abambowa). Omulangira anaafuuka Kabaka (anaalya eŋŋoma) alina okubaako emikolo egy'ennono gy'akola ku ŋŋoma Mujaguzo nga tannafuuka Kabaka wa Buganda. Omulangira oba Omumbejja w'Obwakabaka bw'azaalibwa eŋŋoma z'Obwakabaka zikubibwa (zivuga) abo abalonde okuva mu kika ekivunaanyizibwa ng'akabonero okutegeeza Obuganda nti Omulangira oba Omumbejja azaaliddwa. Era eŋŋoma zino zivuga ssinga Kabaka abeera akisizza omukono/ aggye omukono mu ngabo(afudde) na akabonero ak'okumubika mu butongole. Okusinziira ku Buwangwa b'Abaganda, Kabaka TAFA wabula ABULIRA MU KIBIRA. Mu Masiro ga Bassekabaka ba Buganda nga ag'e Kasubi (Kasubi Tombs) oba ag'e Wamala omuntu bakoma kumulaga mulyango ogugayingira, awo tasukkawo era kyamuzizo okusukkawo okweyongera munda.
Mu Buganda temuli nkola ya kugamba nti omuntu azaalibwa nga yeew'okulya eŋŋoma Buli mulangira atwalibwa mu ngeri ya kyenkanyi okutuusa ekiseera eky'okutikkira Kabaka omuggya nga kituuse- Nga Kabaka abaddeko akisizza omukono. Wabula mu kiseera nga Kabaka aliko afuga, akakiiko k'abantu abalonde kabeerawo nga keetegereza n'okwekenneenya aenneeyisa y'abalangira ababaawo mu kiseera ekyo. Mu mbeera eyo, Kabaka asinziira ku magezi g'akakiiko ako n'alonda omulangira anaamuddira mu bigere. Ku mukolo ogutegekebwa mu kyama, Omulangira omulonde akwasibwa akabugo (bark cloth) nga kamuweebwa akulira akakiiko ako akasunsuzi. Erinnya ly'Omulangira eyo alondeddwa likuumibwa nga lya kyama okutuusa Kabaka aba aliko ng'akisizza omukono. Kabaka bw'akisa omukono/bw'afa, Abalangira n'Abambejja bayitibwa okukuba eriiso evvannyuma ku njole ya Kabaka(omulambo), wano Omulangira Omulonde w'akwatira akabugo kali, n'akassa ku njole eyo nga akabonero ak'okweyoleka nti ye musika / y'anaddira mu bigere.Template:Quote boxEkigambo Kabaka kitegeeza Omutume.
-Kabaka Mutesa II.[2]
Mu nnono z'Abaganda, Omwana aba wa kika ka kitaawe (amuzaala). Kyokka mu mbeera y'emu waliwo ebiwanuuzibwa nti Kabaka atwala muziro gwa nnyina. Kino si kituufu.[3]Kabaka aba n'ekika kye ekiyitibwa "Olulyo Olulangira". era n'abasajja (abalenzi) abakivaamu bayitibwa Abalangira ate abakazi (abawala) bayitibwa 'abambejja'. Okutabulwa ku ku nsonga eno kwava ku mbeera nti ekika kino ek''Olulyo Olulangira terulina kabbiro ate ng'ebika by'Abaganda ebirala biba n'akabbiro. Kyokka ekabbiro tekalina kutwalibwa mu mbeera y'emu n'ekika. Akabbiro kabeera kabonero bubonero kyokka ekika kyo kirala ensibuko y'obuzaala bw'omuntu okuyita mu lubu lwa kitaawe okuviira ddala ku Kabaka Kintu.
Omulangira omukulu owa Kabaka mu buwangwa ayitibwa Kiweewa,ng'ono takkirizibwa kufuuka Kabaka. Kino kyategekerwa bwekityo okumutaasa okutemulwa n'ekigendererwa k'okufuuka Kabaka. Kyokka aweebwa obuvunaanyizibwa obw'enjawulo obw'okutuukiriza mu Lulyo Olulangira mu Bwakabaka. Era y'ensonga lwaki anaalya eŋŋoma asigala nga wa kyama.
Bano be Bakabaka ba Buganda amamanyiddwa, okutandikira mu myaka gya 1300 AD.
Seamless Wikipedia browsing. On steroids.
Every time you click a link to Wikipedia, Wiktionary or Wikiquote in your browser's search results, it will show the modern Wikiwand interface.
Wikiwand extension is a five stars, simple, with minimum permission required to keep your browsing private, safe and transparent.