Jim Muhwezi

munnabyabufuzi mu Uganda From Wikipedia, the free encyclopedia

Jim Muhwezi
Remove ads

Meeja Genero (eyawummula)Jim Muhwezi Katugugu Munnayuganda, munnamateeka, munnabyabufuzi, munnamagye eyawummula. Akola nga Minisita w'ebyokwerinda mu Kabinenti ya Uganda okuva nga 8 Ogwomusanvu, 2021.[1]

Thumb
Muhwezi Jim Katugugu

Emabega, okuva mu Gwokusatu 2015 okutuuka mu Gwokutaano 2016, yaweerazaako nga Minista w'ebyamawulire n'okulungamya eggwanga. Yalondebwa mu kifo ekyo mu nkyukakyuka ezaakolebwa nga 1 Ogwokusatu 2015,[2] ng'adda mu bigere bya Rose Namayanja, eyaggyibwa mu Kabinenti.[3]

Era ye Mubaka mu Paalamenti akiikirira Essaza ly'e Rujumbura , Rukungiri Disitulikiti. Yafuna ekifo kino mu 2021, oluvannyuma lw'okuva mu kifo kino okumala emyaka etaano, wakati wa 2016 ne 2021.

Remove ads

Obuvo n'okusoma

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Rukungiri nga 23 Ogwomunaana 1950. Jim Muhwezi alina Diguli mu mateeka, okuva ku ssettendekero wa Makerere , Ssettendekero ya gavumenti esinga obukulu mu Uganda. Era yafuna okutendekebwa okuva ku Senior Military Police and Security Intelligence Training mu Tanzania n'eyali mu kibiina kya Soviet Union. Mu Gwomusanvu 2009, Law Development Center mu Kampala yamuwa Dipuloma okuteekesa amateeka mu nkola, ekisaanyizo ekyamuwa layisinsi okukwasaganya eby'amateeka mu ggwanga.[4]

Remove ads

Obumanyirivu

Mu myaka gya 1970 Jim Muhwezi yakolako ng'omupoliisi mu kitongole kya Uganda Police Force. Y'omu ku beetaba mu lutalo lwa (1981–1986) olwaleeta National Resistance Movement mu buyinza. Oluvannyuma lw'olutalo, yaweerezaako nga mmemba ku National Resistance Council (NRC) okuva mu 1986 okutuuka mu 1996. Mu kiseera kya kimu, yali akola nga ssenkulu wa Internal Security Organisation (ISO). Ng'akulira ISO, Muhwezi agambibwa okulongoosa ekifaananyi kya Poliisi. Mu kisanja kye eky'emyaka ekkumi ku kitongole, tewaali kwemulugunya kwavaayo ku kutulugunya mu kitongole.[5] Wakati wa 1994 ne 1995, yaweereza nga Mmemba mu kakiiko abaabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995. Okuva mu 1996 okutuuka mu 1998, Jim Muhwezi yaweerezaako nga minisita w/ebyenjigiriza ebyawansi. Yalondebwa nga minisita w'ebyobulamu mu 2001, n'aweereza mu kifo ekyo okutuuka mu 2006.[6]

Remove ads

Ebimukwatako ng'omuntu

Jim Muhwezi Katugugu mufumbo ne Susan Muhwezi, muto wa nnaggagga Bob Kabonero ne ambasada Richard Kabonero. Alina abaana musanvu. agambibwa okwagala okusoma n'okuzannya ggoofu.

Emirimu gya Paalamenti

Yali Mmemba ku kakiiko ka Paalamenti akakola ku by'okuzimba.

Laba na bino

Ebijuliziddwa

Loading related searches...

Wikiwand - on

Seamless Wikipedia browsing. On steroids.

Remove ads