John Blaq

Munnayuganda omuyimbi From Wikipedia, the free encyclopedia

John Blaq
Remove ads

John Kasadha (abasinga gwe bamanyi nga John Blaq (yazaalibwa nga 16 Ogwomusanvu 1996). Munnayuganda omuyimbi era omusanyusa. Okusinga ayimba ennyimba ez'ekika kya 'dancehall' ne afrobeat.[1][2][3][4]

Thumb
John Blaq

Ebyafaayo bye

Obuto bwe n'okusoma kwe

Kasadha yasomera ku Lwanda Primary School ne ku Hasan Tourabi Primary School gye yatuulira ebigezo bye ebye'kibiina ekyo'musanvu ebya Primary Leaving Examinations.[5][6] Wakati wa 2010-12, yeegatta ku Bweyogerere Secondary School, gyeyafunira ebbaluwa ya S.4 eya UCE n'eya S.6 eya UACE mu 2016 ne mu 2018.[7]

Omulimu gw'obuyimbi

Thumb

Kasadha yayatiikirira mu 2018 n'oluyimba lwe olwa "Tukwatagane".[8][9] Oluyimba lwa "Sweet Love" lwe yasooka okuyimba n'omuyimbi omulala, Vinka, era lwafuluma mu December, 2018.[10][11] Ekivvulu kye ekyasooka kyali Freedom City, mu Kampala nga 29 Ogwekkuminoogumu 2019.[12][13][14]

Ennyimba ze

 

  • Romantic 2018
  • Sweet Love ft. Vinka 2018
  • Tukwatagane 2018
  • Program Ft. VIP Jemo & Mosh Mavoko 2018
  • Kyoyoya Ft. Daddy Andre & Prince Omar 2018
  • Obubadi 2018
  • Makanika 2019
  • Maama Bulamu 2019
  • Do Dat 2019
  • Tewelumya Mutwe 2019
  • Ebyalagirwa 2019
  • Replace me Ft. Sheebah Karungi & Grenade Official 2019
  • Ebintu byo Ft. Ykee Benda 2019
  • Tewelumya Mutwe Ft. DJ Shiru & Jowylanda 2019
  • Nekwataako[15] 2020
  • Oli Wamanyi Ft. Slim Prince[16][17] 2020
  • Hullo [18] 2020
  • Blessed Ft. Levixone 2020
  • Mu Lubiri 2020[19][20]
Remove ads

Pulojekiti ze yeenyigiddemu

Mu Gwomwenda 2019, Kasadha yateeka omukono ku ndagaano ne kkampuni ya Pepsi mu kazannyo kaayo aka "Tukonectinge Pepsi" .[4][21][22] Mu 2019, yeetaba mu kampeyini ey'okulwanyisa abaana abato okufuna embuto.[23][24]

Awaadi z'awangudde

More information Year, Award ...

Ebijuliziddwamu

Loading related searches...

Wikiwand - on

Seamless Wikipedia browsing. On steroids.

Remove ads