Mbarara High School

Essomero erisangibwa e Mbarara mu distulikiti y'e Mbarara e Uganda From Wikipedia, the free encyclopedia

Mbarara High School
Remove ads

Template:Infobox school

Thumb
HE Yoweri Kaguta Museveni Pulezidenti wa Uganda, omu ku bantu ab’ekitiibwa abaasomera mu Mbarara High School.

Mbarara High School (MHS), era emanyiddwa nga Chaapa ssomero ly'abalenzi bokka erisangibwa e Ruharo mu kibuga ky'e Mbarara mu Disitulikiti y’e Mbarara mu Buggwanjuba bwa Uganda .

Ekifo

Essomero lino lisangibwa mu kibuga Mbarara mu Buggwanjuba bwa Uganda kilommita 270 (170 mi), ku luguudo, mu Bukiikaddyobwobuggwanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu ggwanga. [1] Essomero lino lisangibwa mu bitundu by’e Ruharo nga kilommita 2 (1.2 mi)okuva ku luguudo lwa Mbarara - Ishaka, mu Buggwanjuba bw'ekitundu ky’abasuubuzi ekiri wakati mu Mbarara. Coordinates za MHS ze zino: Latitude:-0.6155S; Longitude:30.6335E. [2]

Remove ads

Ebyafaayo

Yatandikibwawo mu 1911 abaminsani aba Anglican, Abakristaayo abeegattira mu Kkanisa ya Bungereza . Essomero lya Mbarara High School lye ssomero lya siniya erisinga obukadde mu Buggwanjuba bwa Uganda . Erina ebibiina okuva ku Siniya esooka okutuusa ku y'omukaaga. Ettaka essomero lino kwe lyazimbibwa lya Bulabirizi bwa Ankole, obw'Ekkanisa ya Uganda . Nga ekkanisa erina obwannannyini n’okufuga essomero lino, Gavumenti ya Uganda, ng’eyita mu Minisitule y’ebyenjigiriza, ewaayo ku mbalirira y’essomero. Ekibiina ky’okwekalakaasa ekya Kumanyana mu myaka gya 1940, ekyali kisaba omwenkanonkano mu abantu b’e Bairu ab’e Ankole n’Abahima, kyalina emirandira mu ssomero lino. [3]

Remove ads

Ekitiibwa

Essomero lya Mbarara High School lye limu ku masomero ag'ebbeeyi mu Uganda, olw’obuyigirize bwalyo obulungi.

Abayizi abaaliwo abamanyiddwa

Essomero lino lirimu abayizi bangi abaaliwo nga bangi ku bo baweereza mu bitongole bya gavumenti n’eby’obwannannyini mu Uganda. Abamu ku bbo be bano wammanga:

Remove ads

Laba ne

Ebijuliziddwa

Loading related searches...

Wikiwand - on

Seamless Wikipedia browsing. On steroids.

Remove ads